EAHA DM 1.1a Intro to Disaster Management Training - Captioned
-
0:05 - 0:10(Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University)
OKUTENDEKEBWA MU KWANGANGA EBIBAMBA EBIGWA TEBIRAZE: ENYANJULA -
0:10 - 0:17Ga ssetendekero mu nsi z'Africa ey'ebuvanjuba gakwatidde wamu
-
0:17 - 0:24kaweefube mu nteekateeka oy'okwanganga ebibamba bye by'obulamu esuubirwa okutumbula obusobozi
-
0:24 - 0:30bwa gavumenti ez'ebitundu mu nsi zino mu kuteekateeka obudduukirize singa ebibamba
-
0:30 - 0:34ebiyuuya embeera z'eby'obulamu biba biguddewo.
-
0:34 - 0:40Ekindu kya Africa ey'obuvanjuba kiri mu katyabaga k'ebibamba ebigwa tebiraze ebyekuusa ku butonde bw'ensi oba ebiva ku nkola ya tekinologiya
-
0:40 - 0:41eby'enjawulo.
-
0:41 - 0:47Mu Africa ey'ebuvanjuba temuli nsi nemu etayolekedde, oba etannalozaako ku buzibu
-
0:47 - 0:49bwa bibamba bino ebigwa tebiraze.
-
0:51 - 0:58Ebisinga ku bibamba bino bikosa buteerevu embeera z'e by'obulamu nga bivaako
-
0:58 - 1:05endwadde ezisasaana amangu oba nga bitataaganya enzirukanya y'emirimu
-
1:05 - 1:08mu bitongole ebikwatibwako.
-
1:08 - 1:15Ekinyusi kya kaweefube ono kwe kutumbula obusosbozi bwa zi disiturikiti okuteekawo enkola esobozesa
-
1:15 - 1:22obwangu mu kubudaabuda n'okuyamba ababa bakoseddwa, olwo kikendeeze ku bulumi,
-
1:22 - 1:29okunyigirizibwa mu birowoozo n'okufirwa obulamu ebitera okuva mu bibamba nga bino.
-
1:29 - 1:34Omulamwa gw'okutendekebwa kuno kye kyi? Omulamwa gw'okutendekebwa kuno kwe kwongera amanyi mu busobozi
-
1:34 - 1:41bwa buli disiturikiti mu kuteekateeka obuyambi nokubuddukanya olw'e bibamba ebikosa embeera z'eby'obulamu .
-
1:41 - 1:48Ebigendererwa mu kutendekebwa kuno bye bino: Okusasaanya amawulire agakwata ku bibamba ebigwa tebiraze mu by'obulamu
-
1:48 - 1:53Okubangawo enkola ku buli disiturikiti ey'okwanganga ebibamba ebitonotono ebitera okugwaawo
-
1:53 - 1:59ku disiturikiti, era n'okutumbula obusobozi bw'abakungu ba zi disituriki mu kusomesa abantu be bakulembera mu
-
1:59 - 2:04kwanganga ebibamba ebigwa tebiraze
-
2:04 - 2:06Kyikyi kyetusuubira okuva mu musomo guno?
-
2:06 - 2:12Tusuubira okukola ebbago lya disiturirkiti erifuga era n'okulungamya enkola mu kwanganga ebibamba
-
2:12 - 2:14Ekyo tugenda kukikola tutya?
-
2:14 - 2:20Olunaku olusooka: Tugenda kukkiriziganya ku kyi kye tuyita ekibamba era n'engeri ebibamba
-
2:20 - 2:22gyebikosaamu zi disiturikiti
-
2:22 - 2:28Olunaku olw'okubiri:Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku bikyi ebitera okuvaako ebibamba ebigwa tebiraze mu Africa ey'ebuvanjuba era ne mu zi disiturikiti zaffe
-
2:28 - 2:34Day 3: Tugenda kulaba ku zimu ku nkola era n'emitindo mu buduukirize ebisobola okugobererwa mu kwanganga ebibamba
-
2:34 - 2:39Olunaku olw'okuna n'olw'okutaano: Tugenda kukolera mu bubinja obutonotono. Buli kabinja kajja kukola ebbago lya disiturikiti eriyinza okulungamya okwanganga ebibamba ebigwa tebiraze.
-
2:39 - 2:46Olunaku olw'omukaaga: Buli kabinja kajja kwanjula ebbago lyako.
-
2:47 - 2:48Mwebale nnyo.
- Title:
- EAHA DM 1.1a Intro to Disaster Management Training - Captioned
- Description:
-
This is a remix of the 1.1a: Introduction to the Disaster Management Training by Roy William Mayega from Makerere University. This version includes English captions, transcribed by Trisha Paul from University of Michigan. The original video (without captions) can be found at http://www.youtube.com/watch?v=wT2cPup-VOc. This video is part of a learning module from the East Africa HEALTH Alliance called Public Health Emergency Planning and Management for Districts. The full module and the video transcript can be accessed at http://openmi.ch/disaster-mgmt. Copyright 2009-2019 Roy Mayega (Makerere University). The video, transcript, and module are all shared under a Creative Commons Attribution (CC BY) 3.0 License: http://creativecommons.org/licenses/by/3.0/
- Video Language:
- English
- Duration:
- 02:51
kludewig edited Ganda subtitles for EAHA DM 1.1a Intro to Disaster Management Training - Captioned |