(Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University) OKUTENDEKEBWA MU KWANGANGA EBIBAMBA EBIGWA TEBIRAZE: ENYANJULA Ga ssetendekero mu nsi z'Africa ey'ebuvanjuba gakwatidde wamu kaweefube mu nteekateeka oy'okwanganga ebibamba bye by'obulamu esuubirwa okutumbula obusobozi bwa gavumenti ez'ebitundu mu nsi zino mu kuteekateeka obudduukirize singa ebibamba ebiyuuya embeera z'eby'obulamu biba biguddewo. Ekindu kya Africa ey'obuvanjuba kiri mu katyabaga k'ebibamba ebigwa tebiraze ebyekuusa ku butonde bw'ensi oba ebiva ku nkola ya tekinologiya eby'enjawulo. Mu Africa ey'ebuvanjuba temuli nsi nemu etayolekedde, oba etannalozaako ku buzibu bwa bibamba bino ebigwa tebiraze. Ebisinga ku bibamba bino bikosa buteerevu embeera z'e by'obulamu nga bivaako endwadde ezisasaana amangu oba nga bitataaganya enzirukanya y'emirimu mu bitongole ebikwatibwako. Ekinyusi kya kaweefube ono kwe kutumbula obusosbozi bwa zi disiturikiti okuteekawo enkola esobozesa obwangu mu kubudaabuda n'okuyamba ababa bakoseddwa, olwo kikendeeze ku bulumi, okunyigirizibwa mu birowoozo n'okufirwa obulamu ebitera okuva mu bibamba nga bino. Omulamwa gw'okutendekebwa kuno kye kyi? Omulamwa gw'okutendekebwa kuno kwe kwongera amanyi mu busobozi bwa buli disiturikiti mu kuteekateeka obuyambi nokubuddukanya olw'e bibamba ebikosa embeera z'eby'obulamu . Ebigendererwa mu kutendekebwa kuno bye bino: Okusasaanya amawulire agakwata ku bibamba ebigwa tebiraze mu by'obulamu Okubangawo enkola ku buli disiturikiti ey'okwanganga ebibamba ebitonotono ebitera okugwaawo ku disiturikiti, era n'okutumbula obusobozi bw'abakungu ba zi disituriki mu kusomesa abantu be bakulembera mu kwanganga ebibamba ebigwa tebiraze Kyikyi kyetusuubira okuva mu musomo guno? Tusuubira okukola ebbago lya disiturirkiti erifuga era n'okulungamya enkola mu kwanganga ebibamba Ekyo tugenda kukikola tutya? Olunaku olusooka: Tugenda kukkiriziganya ku kyi kye tuyita ekibamba era n'engeri ebibamba gyebikosaamu zi disiturikiti Olunaku olw'okubiri:Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku bikyi ebitera okuvaako ebibamba ebigwa tebiraze mu Africa ey'ebuvanjuba era ne mu zi disiturikiti zaffe Day 3: Tugenda kulaba ku zimu ku nkola era n'emitindo mu buduukirize ebisobola okugobererwa mu kwanganga ebibamba Olunaku olw'okuna n'olw'okutaano: Tugenda kukolera mu bubinja obutonotono. Buli kabinja kajja kukola ebbago lya disiturikiti eriyinza okulungamya okwanganga ebibamba ebigwa tebiraze. Olunaku olw'omukaaga: Buli kabinja kajja kwanjula ebbago lyako. Mwebale nnyo.