EAHA DM 1.2a: Epidemics - Captions
-
0:05 - 0:09(Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University)
Mu ssomo lino tugenda kwogera ku nnawookeera w'endwadde. -
0:09 - 0:12Nnawookeera w'endwadde kyo kye kyi?
-
0:12 - 0:19Nnawookeera kye kirwadde ekisasaana mu ngeri esukkuluma ku dwadde ezabulijjo
-
0:19 - 0:24mu bantu ob'omukitundu ekimu, mu kibinja ekimu, mu kiseera
-
0:24 - 0:27ekigere.
-
0:27 - 0:35Ekigambo ekirala ekyekuusa ku nnawookeera ye kawumpuli ekitegeeza endwadde esimba amakanda
-
0:35 - 0:40mu kitundu ekimu oba mu bantu ab'ekikula ekimu.
-
0:40 - 0:46Ekikulu bwe bungi bw'abantu abakwatibwa edwadde mu kiseera ekigere.
-
0:46 - 0:54Kawumpuli kyo kitegeeza nnawookeera asasaana mu kiseera kye kimu mu bitundu ebyenjawulo.
-
0:54 - 0:59ekwetoloola ensi.
-
0:59 - 1:04Eky'okulabirako, mu nsi yaffe tulaba nga nnawookeera kye kizibu kye tusinga okuba nakyo mu by'obulamu
-
1:04 - 1:08mu disitrikiti zonna okwetoloola Africa ey'ebuvanjuba
-
1:08 - 1:15Mu Uganda yokka eky'okulabirako, waabalukawo nnawookeera w'endwadde mukaaga mu myezi munaana, mu mwaka 2007.
-
1:15 - 1:23Muno nno nga mwe muli: KKolera, omussujja ogwa mulalama, omusujja gw'omukibumba, kawumpuli ava ku mmese, Ebola era n'obulwadde obwefanyirizaako Ebola obuyitibwa Marburg.
-
1:23 - 1:32Oyinza okumenya yo nnawokeera w'endwadde ttaano ezakabalukawo mu biseera ebitali byewala mu disiturikiti yo?
-
1:32 - 1:39Endwadde ezo zitera okwekuusa ku kiddukano ekyengeri ez'enjawulo gamba nga ekiddukano eky'amazzi, Kkolera,
-
1:39 - 1:42ekiddukano eky'omusaayi, ne tayifoyidi.
-
1:42 - 1:47Era endwadde ezo waggulu zitera okubalukawo mu disituriti nyingi mu Afica ey'ebuvanjuba.
-
1:47 - 1:52Okubalukawo kw'endadde ezigemebwa gamba nga olunkusense,
-
1:52 - 1:56nakwo kukyali kw'amanyi kubanga abantu tebajjumbira nnyo kugemesa baana.babwe.
-
1:56 - 2:03Omusujja gw'ensiri gumaamidde ebitundu bingi mu Africa ey'ebuvanjuba naddala ebyo ebiri mu bikko; wabula
-
2:03 - 2:08ne mu bitundu ebiri waggulu ko nayo omusujja guno olumu gulumba yo.
-
2:08 - 2:14Mu bitundu bino, omussujja gw'ensiri gufuuka kawumpuli ssinga gukwata abantu abangi ennyo okusukkuluma omuwendo gw'abo
-
2:14 - 2:20abandisubiddwa okukwatibwa mu kiseera ekimu.
-
2:20 - 2:26Endwadde endala ezisobola kufuuka kawumpuli mulimu ezo ezikwatira mukwegatta gamba nga mukenenya,
-
2:26 - 2:36kabotongo, n'enziku era n'ezo ez'engeri endala nga kawumpuli ava ku mmese, endwadde z'olususu n'ezo eziva kubutwa obuva mu biragalalagala
-
2:36 - 2:43gamba nga omwenge ogusogoddwa mu ngeri ey'ekimpatiira, kino nno nga kifuuse kimu ku bizibu by'eby'obulamu mu
-
2:43 - 2:45Africa ey'ebuvanjuba.
-
2:45 - 2:50Ka tunokoleyo eky'okulabirako ekisooka.
-
2:50 - 2:57Soma ekiwandiiko ekiri ku katambi akakuwereddwa
-
2:57 - 3:03Ekibuuzo: Ekyo kyosomyeko kiyinza okubaawo mu disiturikiti yo? Era nga kibaddewo,
-
3:03 - 3:08abakulembeze ba disiturikiti bategeera batya nti waliwo nnawookeera?
-
3:08 - 3:14Okumanya nnawookeera tulina kubagulizibwako.
-
3:14 - 3:20Tufuna amawulire agakwata ku nnawoookeera okuva mu bantu abawansi era
-
3:20 - 3:23n'okuva ku alipoota ez'abalwadde abagenda mu malwaliro, oba ezo eziva mu bakulembeze abasookerwako.
-
3:23 - 3:32Nolwekyo tulina okubeera n'enteekateeka mwetuyinza okuyita okumanya amangu, eri ddala wansi mu bantu.
-
3:32 - 3:40Etteeka ekkulu mu kumanya nnawookeera lili nti buli lugambo lwonna lulina okunoonyerezebwako.
-
3:40 - 3:46Ngatunoonyereza ku nnawookeera tulina okufuna okunnyonnyolwa ebikwata ku bulwadde
-
3:46 - 3:52naddala okuva ku basawo ababa babujjanjaba. Olwo nno n'abantu ne balyoka batuusibwako amawulire gano
-
3:52 - 3:53agakwata ku bulwadde nga bwe buba bulabise.
-
3:53 - 4:01Ekyokubiri ekikakasa nti ddala nnawookeera, walina okubaawo okulinnya mu muwendo gw'abo abakwatibwa okussukkuluma
-
4:01 - 4:05ku kisuubirwa.
-
4:05 - 4:13Bikkula ekiwandiiko ekikuwereddwa kubbali era olabe okunnyonnyola okwenjawulo
-
4:13 - 4:16okukolebwa ku ndwadde ezimanyiddwa ba kagezi munnyo
-
4:16 - 4:26gamba nga poliyo, olunkusense, kolera,ebola ne
-
4:26 - 4:28mulalama.
-
4:28 - 4:34Engeri obulwadde gye bu nnyonnyolwamu oba gye butuumibwamu eyinza okukyuuka okusinziira ku kitundu mwebuli oba obubonero
-
4:34 - 4:39mwe bweyolekera nga nnawookera abaluseewo.
-
4:39 - 4:46Ekitongole kwa disiturikiti ekiddukirize (District Rapid Reaction Team) kisobola okugunja wo erinnya oba enyinyonnyola y'obulwadde singa waba tewali nyinyonnyola nkukuutivu,
-
4:46 - 4:53nga basinziira ku ngeri gye bweyolekamu era n'obuzibu obuva ku
-
4:53 - 4:56mbeera eyo mwe bweyolekera.
-
4:56 - 5:00Ggwe oyinza okugezaako okuwa enyinnyonnyola yo ku ndwadde zino wammanga?
-
5:00 - 5:05Edwadde eva ku kunywa omwenge ebaluseewo era n'etta abantu mu kitundu ekimu (X)
-
5:05 - 5:162. Ekiddukano Ky'omusaayi kibaluseewo mu kibinja Y
3. Edwadde eva ku mmere ebaluseewo -
5:16 - 5:21era n'evaako abantu okufa mu kyalo Z
-
5:21 - 5:27Edwadde eziyinza okuvaamu nnawookeera zisobola okubeera mu kitundu ekimu naye nga tezinnafuuka nnawookeera.
-
5:27 - 5:33Eky'okulabirako gwe musujja gw'ensiri, ogumaamidde ebitundu binji mu Africa ey'ebuvanjuba.
-
5:33 - 5:39Okulangirira nnawookeera omuwendo gw'abo abakwatibwa gulina okuba nga gulinnye nnyo okuyita ku ekyo ekisuubirwa.
-
5:39 - 5:44mu kiseera ekigere.
-
5:44 - 5:50Wabula endawadde ezimu ezivaako nnawookeera teziba zabulijjo mu bitundu mwe zizinda.
-
5:50 - 5:54Era ku ndwadde nga ezo, omuntu omu olukwatibwa tugamba nti wabaluseewo nnawokeera
-
5:54 - 5:58Eky'okulabirako, kye kirwadde nga Kolera.
-
5:58 - 6:01Edwadde ezimu ezivaako nnawookeera tezitera kulabika wabulwa nga za kabenje nnyo bwe zirabika.
-
6:01 - 6:06Mu mbeera eyo tetusobola kulinda kumaliriza kunoonyereza ku mulwadde oyo aba alabise
-
6:06 - 6:10Wabula kasita tuteeberereza ku oyo nga tulangirira nnawookeera.
-
6:10 - 6:13Eky'okulabirako bwe bulwadde bwa Ebola.
-
6:13 - 6:18Nolwekyo engeri gye tupimamu amanyi ga nnawookeera esinziira ku ndwadde yennyini.
-
6:18 - 6:21Okugeza Ku Kolera, bwe tukakasayo omulwadde omu bwati
-
6:21 - 6:24ate ku Ebola kuteeberezayo omulwadde omu bwati olwo netulyoka tulangirira nnawookeera.
-
6:24 - 6:31Okulangirila nnawookeera w'Olunkusense tusinziira ku balwadde abateeberezebwa batanu n'okugenda waggulu, oba basatu abakakasiddwa
-
6:31 - 6:37mu kitundu ekyetolodde edwaaliro erimu, mu mwezi gumu.
-
6:37 - 6:44Wabula ate ku musujja gw'ensiri, olw'okuba gumaamidde ebitundu bingi mu Africa ey'ebuvanjuba, nnawookeera alangirirwa
-
6:44 - 6:53nga omuwendo gw'abo abakwatibwa gusukkulumye nnyo ku ogwo ogusuubirwa, mu kiseera ekigere.
-
6:53 - 7:04Katutunuulire eky'okulabirako eky'okubiri ekiri mu kiwandiiko ekiri ku katambi.
-
7:04 - 7:11Kale katwekennenye eky'okulabirako kino nga bwetukubaganya ebirowooozo ku bibuzo bino:
-
7:11 - 7:17Olowooza disituritiki era n'ekitongole eky'eby'obulamu bagezaako okunoonyereza
-
7:17 - 7:19ku bikwata ku nnawookeera ono?
-
7:19 - 7:25Bwe tugamba nti 'obudduukirize obw'embagirawo' tuba tutegeezakyi?
-
7:25 - 7:38EMITENDERA MU KUNONYEREZA KU NNAWOOKEERA
1- Okuddukirira okusooka era n'okukakasa nnawookeera. -
7:38 - 7:45Kikulu nnyo okuyungula ekibinja era n'okukola enteekateeka ey'okulambula ekitundu ekyo ekurumbiddwa mu bwangu nga bwe kisoboka.
-
7:45 - 7:51Eky'okubiri: Kikulu okubagawo erinnya oba engeri enyangu obulwadde obwo gye buyinza okunnyonnyolwamu, olwo nno netulyooka tukakasa abalwadde abo ababa balabise.
-
7:51 - 7:54Eky'okusatu: Kisaana okubagawo engeri ennungamu ey'okuzuula mu abalwadde b'obulwadde obwo.
-
7:54 - 8:01Eky'okuna: Kakasa nti waliwo nnawookeera nga ogerageranya okweyongera kw'owuwendo gw' abakwatibwa nabo abakwatibwa edda.
-
8:01 - 8:07Oky'okutaano: nyonnyola ani akwatiddwa? Ddi era wa?
-
8:07 - 8:14Omutendera ogw'okubiri:
-
8:14 - 8:22Gunja wo akabinja aka disiturikiti ak'avunanyizibwa ku nnawookeera ono era ogabanye bulungi obuvunanyizibwa.
-
8:22 - 8:30Weeyambise erinnya oba ebigambo ebinnyonnyola byewagunjizzaawo okuzuula abakwatiddwa era otekewo ekifo awajjanjabirwa obulwadde buno.
-
8:30 - 8:35Omutendera ogw'okusatu: gunjawo enkola eziyinza okuziyiza obulwadde buno okusaasaana.
-
8:35 - 8:38Jjanjaba abakwatiddwa osobole okukendeeza ku kusaasaana era n'okufa.
-
8:38 - 8:45Lowooza nnyo ku kugema, okuyonja ebifo omuli obuwuka era n'ebyambalo ebiyinza okukendeeza ku kusaasaana.
-
8:45 - 8:48Somesa abo bonna abalina emikisa emingi egy'okukwatibwa obulwadde obwo.
-
8:48 - 8:53Wegendereze nga oyogera ku bulwadde obwo okwewala okutiisa ennyo abantu wabula oyambe mu kuziyiza okusaasaana.
-
8:53 - 8:57Omutendera ogw'okuna: Kola kubwetaavu bwonna obuyinza okubaawo mu bakozi oba mu bikozesebwa.
-
8:57 - 9:02Eddagala, ebikozesebwa mu kujjanjaba era ne byonna ebiyamba okutumbula obujjanjabi.
-
9:02 - 9:07Noonya abajjanjabi n'ebikozesebwa okuva ebweru w'ekitongole eky'eby'obulamu
-
9:07 - 9:12gamba nga ebitongole eby'obwannakyewa singa ebikozesebwa biba tebimala.
-
9:12 - 9:19Omutendera ogw'okutaano: Noonyereza biki ebivuddeko nnawookeera ono era okole alipoota.
-
9:19 - 9:24Weekennenye ebimanyiddwa ku dwadde eno osobole okuzuula ebyo ebiyinza okuteeka abantu mu katyabaga k'okukwatibwa.
-
9:24 - 9:29Kola alipoota era fuba okulaba nti amawulire agalimu gatuuka ku buli bantu abeetaaga okugafuna era n'abo ab'etaaga
-
9:29 - 9:30okubaako kye bakola okuziyiza okusaasaana kw'endwadde eyo.
-
9:30 - 9:48Mu alipoota muno olina okubaako ebirowoozo byowa ku kyiki ekiyinza okukolebwa amangu ddala mu kukkakkanya nnawookeera ono.
-
9:42 - 9:49Yongera amanyi mu kulabiriza ebubonero obuyinza okulaga abakwatiddwa era oyigire okwo
-
9:48 - 9:42Omutendera ogw'omukaaga: Beera bulindaala
-
9:49 - 9:52engeri y'okudduukirira mu nnawookeera mu biseera eby'omumaaso.
-
9:52 - 9:58Tekawo enkola eziziyiza nnawookeera ow'ekikula nga ekyo mu biseera eby'omumaaso.
-
9:58 - 10:00Mwebale nnyo okuwuliriza.
- Title:
- EAHA DM 1.2a: Epidemics - Captions
- Description:
-
This is a remix of 1.2a: Epidemics narrated by Roy William Mayega (Makerere University). This version includes English captions. The original video (without captions) can be found at http://www.youtube.com/watch?v=VHHGfll28RA. Video transcribed by Trisha Paul (University of Michigan). This video is part of a learning module from the East Africa HEALTH Alliance called Public Health Emergency Planning and Management for Districts. The full module and the video transcript can be accessed at http://openmi.ch/disaster-mgmt. Copyright 2009-2019 Roy Mayega (Makerere University). The video, transcript, and module are all shared under a Creative Commons Attribution (CC BY) 3.0 License: http://creativecommons.org/licenses/by/3.0/.
- Video Language:
- English
- Duration:
- 10:18
kludewig edited Ganda subtitles for EAHA DM 1.2a: Epidemics - Captions |