EAHA DM 1.1d: Introduction to Disasters - Captions
-
0:06 - 0:13(Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University)
Lino lye ssomo erisooka mu kitundu kyaffe ekisooka mu misomo gino. -
0:13 - 0:19Essomo lino lituwa enyanjula ku bibamba.ebigwa tebiraze
-
0:19 - 0:28Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku nyingo enkulu, amakulu n'ebyo ebikwata ku bibamba ebigwa tebiraze
-
0:29 - 0:33era n'ebigambo ebitera okukozesebwa nga twogera ku bibamba ebigwa tebiraze
-
0:33 - 0:40Era tugenda kwogera ku bika oba engeri eziri mu bibamba bino era n'engeri embeera z'eby'obulamu gye zikosebwamu.
-
0:41 - 0:43ebibamba bino,
-
0:43 - 0:48Ekigambo "ekibamba" kikutegeeza kyi?
-
0:48 - 0:55Ekibamba kiyinza okunnyonnyolwa nga ekintu ekigwaawo nekitataaganyiza ddala era n'okutabulatabula enkola n'embeera y'obulamu mu bantu ab'omukitundu ekimu.
-
0:55 - 1:04oba ebitundu ebiwereko, ekiretera abantu okufiirwa obulamu n'ebintu byabwe era n'ekitundu mwebabeera okutataagana, mungeri esukka
-
1:04 - 1:11obusobozi bw'abantu bano n'ebintu bye balina, okwejja mu buzibu.
-
1:11 - 1:18Ekikulu mu mbeera eno kwe kuba nti obuzibu buba busukkira ddala nnyo obusobozi bw'abantu ababa bakoseddwa
-
1:18 - 1:23era okuyita mu mbeera eno baba beetaga obuyambi obwamanyi.
-
1:23 - 1:28Ago nno ge makulu g'ekigambo kibamba agaawebwa ekitongole ky'ensi yonna , ekikola ku by'obulamu, World Health Organization.
-
1:28 - 1:30Kati tugenda okunnyonnyola ebigambo ebirala
-
1:30 - 1:31Akattu kye kyi?
-
1:31 - 1:38Eno yembeera etwetaagisa okulekayo engeri eza bulijjo ze tukolamu ebintu era ne tubangawo enkola ezitali zabulijjo
-
1:38 - 1:42okusobola okwewala akabi akava mu kibamba.
-
1:42 - 1:47Wabula emirundi mingi ebigambo bino: 'akatttu' ne 'ekibamba' bikozesebwa okutegeeza ekintu kye kimu.
-
1:47 - 1:56Naye tulina okummanya kino nti: akattu ye mbeera etwetaagisa okukyuusa mu ngeri gye tubadde tukola mu ebintu
-
1:56 - 2:05nga tugunjawo engeri eyenjawulo egendererwamu okuziyiza
-
2:05 - 2:09ekibambulira.
-
2:09 - 2:13Katulabe ku bigambo ebiri mu kkowe lino.
-
2:13 - 2:18Ekikuuno, akatyabaga, obusobe, n'obusobozi.
-
2:18 - 2:20Ekikuuno kye kyi?
-
2:20 - 2:25Ekikuuno kye kintu ekibi, eky'entiisa ekiyinza okuzaala obizibu obungi eri abantu
-
2:25 - 2:32Ekyo nno kiba tekinnaleeta buzibu naye nga kilina obosobozi okuvaamu ekibamba.
-
2:32 - 2:34Akatyabaga kye kyi?
-
2:34 - 2:40Eyo ye mbeera eyinza okuvaako okufiirwa obulamu, ebintu oba okutaataaganyizibwa mu by'emirimu n'eby'enfuna
-
2:40 - 2:44n'obutonde bw'ensi, nga bireteddwa ekikuuno ekigwa mu kitundu ekimu mu kiseera ekimu.
-
2:44 - 2:55Akatyabaga kye kigambo ekikozesebwa mu mbeera elimu emikisa emingi egy'okukosebwa okuva ku kikuuno.
-
2:55 - 2:58Olwo obusobe kye kyi?
-
2:58 - 3:04Wano obusobe kitegeeza embeera omuntu mwaberera omwangu ennyo okukosebwa mu birowoozo era ne mu mubiri gwe
-
3:04 - 3:06Oluvannyuma lw'ekibamba.
-
3:06 - 3:14Bwe tukigaziya tuyinza okugamba nti bwe bungi bw'emikisa eri ekitundu, abantu, n'ebintu
-
3:14 - 3:21okukosebwa olw'embeera eva mu kikuuno.
-
3:22 - 3:23Obusobozi kye kyi?
-
3:23 - 3:35Mumbeera eno kino kitegeeza okubaawo kw'abantu, ebikozesebwa era n'ebikola byonna
-
3:35 - 3:43ebiyinza okusobozesa abantu b'omukitundu ekimu okwanganga ekikuuno nga tekinnatuuka oba okwanganga ebizibu bye kiba kireseewo.
-
3:45 - 3:48Olwo nno kakwate kyi akali wakati w'ebigambo bino?
-
3:48 - 3:58Ekibamba n'akatyabaga: Akatyabaga mu mbeera y'ekibamba kasobola okunnyonnyolwa nga tweyambisa ekibalo kino wammanga.
-
3:58 - 4:05Akatyabaga kenkanankana n'ekikuuno nga okikubaganyizzaamu obusobe ate n'oyawulako obusobozi.
-
4:05 - 4:08Ebibamba bisobola okujja olw'obutonde,
-
4:08 - 4:14naye ate bisobola okuva ku nkola eya tekinologiya oba ebyo ebikolebwa omuntu.
-
4:14 - 4:19Waliwo ebibamba ebitagwa mu kimu ku bika ebyogeddwaako waggulu, nga ebyo tubiyita bya maleeto.
-
4:19 - 4:24Engeri endala gyetuyinza okwawula mu bibamba esinziira ku misinde kwe bitambulira.
-
4:24 - 4:31Ebibamba ebimu bitambula ku misinde gya yiriyiri ate nga ebirala byo bitambula kasoobo.
-
4:31 - 4:40Mu ebyo ebitambula akasoobo tulinamu ekyeya, eddungu,enjala, okutema ebibira
-
4:40 - 4:43mpozzi n'obuwuka oba endwadde ezikwata ebimera.
-
4:44 - 4:51Ebibamba ebya yiriyiri bitwariramu ebyo ebiva ku mbeera y'obudde gamba nga amataba, embuyaga ya zzimu,
-
4:51 - 5:01omuliro ogwa kyegyira, omuzira oguggwa era n'ebyo ebiva ku nkula y'ensi gamba nga sunami oba ensozi okuwandula omuliro
-
5:01 - 5:04n'okubumbulukuka kw'ettaka.
-
5:04 - 5:06Ebibamba ebiva ku tekinologiya bitera kuletebwa
-
5:06 - 5:16bikolwa bya bantu bennyini oba omukka oguva mu bintu abantu bye bakozesa.
-
5:16 - 5:22Muno mwetusanga obukuubagano n'entalo ebireeta abantu okubundabundira mu nsi yabwe oba ebweru w'egwanga.
-
5:22 - 5:26Bino tutera kubiyita kika kya mbeera ya kattu.
-
5:26 - 5:33Ebibamba bya tekinologiya era bitwaliramu ebizimbe n'amayumba okugwa,
-
5:33 - 5:40ebibamba ebibaawo mu by'entambula, obubenje bw'oku mazzi n'obw'okulukalu era n'obubenje obulala bwonna.
-
5:40 - 5:48gamba nga omukka ogw'obutwa oguva mu ddagala oba mu makolero.
-
5:50 - 5:56mu bibamba bya tekinologiya era mulimu obubenje bw'eby'okwerinda, omuliro,ebibamba ebiva ku butujju,
-
5:56 - 6:02n'obubenje by'omu makolero
-
6:02 - 6:04Ebibamba ebya maleeto.
-
6:04 - 6:10Mu mbeera ezimu kiba kizibu okwawula mu bibamba bino naddala okugamba nti bivudde ku butonde
-
6:10 - 6:11oba bivudde ku tekinologiya.
-
6:11 - 6:17Eky'okulabirako, endwadde eza kawumpuli zigwa mu tuluba kyi?
-
6:17 - 6:21Kakano katutunuulire engeri ebibamba gye bikosaamu eby'obulamu.
-
6:21 - 6:28Ebibamba bivaako ebizibu bingi nga omwo mwe muli abantu okufa n'okulumizibwa, okubulwa amazzi amayonjo, okufiirwa
-
6:28 - 6:35okufiirwa webegeka oluba, okufiirwa ebintu byabwe, okubundabunda, okufiira enteekaterka ez'eby'obuyonjo,
-
6:35 - 6:42nga enteekateeka ez'okuyonja okwa buli lunaku, okutataaganya entambuza ya kazambi oba enkola ez'ebyokwerinda mu ngeri ez'enjawulo,
-
6:42 - 6:49nga bireeta okutya, olwo obuwuka obuleeta obulwadde ne bweyongera era
-
6:49 - 7:00negujabagira nga endwadde ez'olukonvuba nazo zinyinyintira, oluusi n'amasanyalaze nga gavuddeko, emmere nga ya kkekwa
-
7:00 - 7:04ate n'amazzi nago nga gaanjadde.
-
7:04 - 7:11Kino kye kifannanyi ky'embeera nga wabaddewo ekyeeya n'enjala.
-
7:13 - 7:20Kino kye kifananyi ky'ebyo ebibaawo nga waliwo amataba agomujjirano.
-
7:20 - 7:26Kuno kunnyonnyola ku ebyo ebibaawo mu mbeera ey'amataba agajja empolampola.
-
7:26 - 7:32Kuno kunnyonnyola ku bikyi ebiva mu mbeera ey'ettaka okubumbulukuka.
-
7:32 - 7:38Enkola eya Hyogo Framework for Disaster Management y'enteekateeka ey'ensi yonna esimbye essira ku
-
7:38 - 7:46bino wammanga ku mitendera gyonna: okugunjawo enkola eyitibwaamu okuwa okulabula okusooka
-
7:46 - 7:53okutumbula obusobozi era n'okussa essira ku nkola yonna etumbula obusobozi, okussa essira ku kwerinda n'okutumbula amanyi okulwanyisa embeera nga ezo waggulu
-
7:53 - 8:01mu bantu b'owansi, okukendeeza ebyo ebibateeka mu katyabaga, n'okwongera amanyi mu bweteefuteefu mu kwanganga ebibamba ku buli
-
8:01 - 8:04mutendera.
-
8:04 - 8:11Ebimu ku bigambo ebikwata ku mbeera ekulembera ebibamba mulimu obweteefuteefu, ekitegeeza enteekateeka eyamba abantu
-
8:11 - 8:18okumanya kyikyi eky'okukola nga ekibamba kigudde.
-
8:18 - 8:24Okugema ekitegeeza ebikolwa ebireeta obukuumi obwenkomeredde ku bibamba
-
8:24 - 8:31ebitwaliramu okukozesa ebyuma wamu n'ebintu ebirala ebikwatibwako, era n'okussaawo amateeka agakugira
-
8:31 - 8:34enkozesa y'ettaka era n'enteekateeka y'ebibuga.
-
8:34 - 8:41Waliwo okwetangira ekitegeeza enteekateeka ezikolebwa nga ekintu tekinnabaaawo nga zigendererwamu okukendeeza
-
8:42 - 8:49oba okukugira akabi kekiyinza okutuuusa ku bantu ne ku butonde bw'ensi.
-
8:49 - 8:52Ebyo ebikolebwa nga ekibamba kimaze okugwawo mulimu okudduukirira.
-
8:52 - 8:59Kuno kwekusalawo era n'ebyo ebitekebwa mu nkola oluvannyuma lw'ekibamba okugwa, nga mulimu obuyambi obw'embagirawo,
-
8:59 - 9:06okuddaabiriza era n'okuzimba ebyo ebiba byonooneddwa.
-
9:06 - 9:08Okuzza obuggya kye kimu ku ebyo ebikolebwa oluvannyuma lw'ekibamba.
-
9:08 - 9:15Kino kitegeeza ebintu ebikolebwa okuzzaawo ebikola era n'enkola eziwanirila obulamu olwo emirimu gisobole okugenda mu maaso
-
9:15 - 9:25era n'okusobozesa enteekateeka zonna ez'okuzza embeera mu nteeko mu kiseera ekiddirira ekibamba.
-
9:26 - 9:30Ebigambo ebirala: Obuyambi era n'obuddukirize
-
9:30 - 9:35Bino bibeerawo mu kaseera nga ekibamba kyakagwaawo.
-
9:35 - 9:42Enteekateeka ez'enjawulo zikolebwa okuwonya obulamu era n'okubudaabuda abo abawonyewo ssaako n'okusisinkana
-
9:42 - 9:44ebyetaago byabwe ebisookerwako.
-
9:44 - 9:48Waliwo enjawulo wakati w'ebigambo: obuyambi n'obuddukirize
-
9:48 - 9:59Obuddukirize bugendererwa kuwonya bulamu sso nga ate obuyambi bugendererwa kuwanirira bulamu.
-
9:59 - 10:08Okubudaabuda kwo kukolebwa nga obuyambi
-
10:08 - 10:09bulekeddawo okugabibwa,
-
10:09 - 10:16era nga obuyambi obw'ebyetaago ebisokerwako tebukyetaagisa,
-
10:17 - 10:20era nga abantu betengeredde mu kusisinkana obwetaavu obw'ebyo ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
-
10:20 - 10:27Okubudaabuda kulimu okuzza obuggya endowooza z'abantu era n'embeera zabwe ez'obulamu, wamu n'okutembenkeza embeera yonna mu kitundu.
-
10:27 - 10:34Era kulimu okugunjawo enkola ennungamu ez'okuwanirira obulamu n'okuyamba ba kawonawo okugenda mumaaso.
-
10:34 - 10:40Enkola eno era esaana okuleeta enkulakulana mukitundu.
-
10:40 - 10:47Ekimu ku by'okulabirako by'okubudaabuda y'enkola ey'okuzzaawo ebibira,
-
10:47 - 10:50era n'enteekateeka ezikolebwa oluvannyuma lw'okuddabulula.
-
10:50 - 10:57Ekinyusi kiri mu kuzza embeera mu nteeko nga bweyali nga ekibamba kekinagwa.
-
10:59 - 11:06Mu kuddabulula mulimu okuddabiriza ebizimbe, enguudo, n'ebiringa ebyo, okusitula omutindo gw'ebintu okuva ku bwebyali nga ekibamba kekinagwa
-
11:06 - 11:13okutumbula amanyi g'abantu b'omukitundu okwanganga ebibamba, gamba nga okutekawo ebizimbe ebyamanyi ebisobola okugumira
-
11:13 - 11:17ebibamba ebifananako nga ekyo mu biseera eby'omumaaso.
-
11:17 - 11:26Enkola eno yonna yandibadde erina engeri gy'esitula omutindo okuva ku kuwa obuwi obudduukirize n'obuyambi,wabula nga esemberera okukendeeza ku mikisa gy'ebibamba okugwa.
-
11:26 - 11:33Kino kya kusomooza gyoli: Nkola kyi zotaddewo okuziyiza ebibamba mu
-
11:33 - 11:35disiturikiti yo?
-
11:35 - 11:39Nkola kyi zotaddewo okuziyiza embeera y'obusobe ku bibamba mu disiturikiti yo?
-
11:39 - 11:44Era nkola kyi zotaddewo okweteekerateekera ebibamba ssinga biguddewo mu disiturikiti yo?
-
11:44 - 11:46Manya kino nti ebibamba byonna birina kukwatibwa bukulembeze bwawansi okusooka.
-
11:46 - 11:51Era ebibamba byonna bikosa ekitundutundu ku bantu b'omu kifo ekimu.
-
11:51 - 11:56Nolwekyo okudduukirira okusooka bulijjo kuva mu kitundu ekyo mwennyini.
-
11:56 - 12:03Eno y'ensonga lwaki obusobozi bw'abantu mu kifo okwanganga ebibamba bulina okutumbulwa.
-
12:04 - 12:06Mwebale kuwuliriza.
- Title:
- EAHA DM 1.1d: Introduction to Disasters - Captions
- Description:
-
This is a remix of 1.1d: Introduction to Disasters by Roy William Mayega (Makerere University). This version includes English captions. The original video (without captions) can be found at http://www.youtube.com/watch?v=aNrDMYBDDlk. Video transcribed by Trisha Paul (University of Michigan). This video is part of a learning module from the East Africa HEALTH Alliance called Public Health Emergency Planning and Management for Districts. The full module and the video transcript can be accessed at http://openmi.ch/disaster-mgmt. Copyright 2009-2019 Roy Mayega (Makerere University). The video, transcript, and module are all shared under a Creative Commons Attribution (CC BY) 3.0 License: http://creativecommons.org/licenses/by/3.0/.
- Video Language:
- English
- Duration:
- 12:24
kludewig edited Ganda subtitles for EAHA DM 1.1d: Introduction to Disasters - Captions |