Return to Video

EAHA DM 1.2a: Epidemics - Captions

  • 0:05 - 0:09
    (Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University)
    Mu ssomo lino tugenda kwogera ku nnawookeera w'endwadde.
  • 0:09 - 0:12
    Nnawookeera w'endwadde kyo kye kyi?
  • 0:12 - 0:19
    Nnawookeera kye kirwadde ekisasaana mu ngeri esukkuluma ku dwadde ezabulijjo
  • 0:19 - 0:24
    mu bantu ob'omukitundu ekimu, mu kibinja ekimu, mu kiseera
  • 0:24 - 0:27
    ekigere.
  • 0:27 - 0:35
    Ekigambo ekirala ekyekuusa ku nnawookeera ye kawumpuli ekitegeeza endwadde esimba amakanda
  • 0:35 - 0:40
    mu kitundu ekimu oba mu bantu ab'ekikula ekimu.
  • 0:40 - 0:46
    Ekikulu bwe bungi bw'abantu abakwatibwa edwadde mu kiseera ekigere.
  • 0:46 - 0:54
    Kawumpuli kyo kitegeeza nnawookeera asasaana mu kiseera kye kimu mu bitundu ebyenjawulo.
  • 0:54 - 0:59
    ekwetoloola ensi.
  • 0:59 - 1:04
    Eky'okulabirako, mu nsi yaffe tulaba nga nnawookeera kye kizibu kye tusinga okuba nakyo mu by'obulamu
  • 1:04 - 1:08
    mu disitrikiti zonna okwetoloola Africa ey'ebuvanjuba
  • 1:08 - 1:15
    Mu Uganda yokka eky'okulabirako, waabalukawo nnawookeera w'endwadde mukaaga mu myezi munaana, mu mwaka 2007.
  • 1:15 - 1:23
    Muno nno nga mwe muli: KKolera, omussujja ogwa mulalama, omusujja gw'omukibumba, kawumpuli ava ku mmese, Ebola era n'obulwadde obwefanyirizaako Ebola obuyitibwa Marburg.
  • 1:23 - 1:32
    Oyinza okumenya yo nnawokeera w'endwadde ttaano ezakabalukawo mu biseera ebitali byewala mu disiturikiti yo?
  • 1:32 - 1:39
    Endwadde ezo zitera okwekuusa ku kiddukano ekyengeri ez'enjawulo gamba nga ekiddukano eky'amazzi, Kkolera,
  • 1:39 - 1:42
    ekiddukano eky'omusaayi, ne tayifoyidi.
  • 1:42 - 1:47
    Era endwadde ezo waggulu zitera okubalukawo mu disituriti nyingi mu Afica ey'ebuvanjuba.
  • 1:47 - 1:52
    Okubalukawo kw'endadde ezigemebwa gamba nga olunkusense,
  • 1:52 - 1:56
    nakwo kukyali kw'amanyi kubanga abantu tebajjumbira nnyo kugemesa baana.babwe.
  • 1:56 - 2:03
    Omusujja gw'ensiri gumaamidde ebitundu bingi mu Africa ey'ebuvanjuba naddala ebyo ebiri mu bikko; wabula
  • 2:03 - 2:08
    ne mu bitundu ebiri waggulu ko nayo omusujja guno olumu gulumba yo.
  • 2:08 - 2:14
    Mu bitundu bino, omussujja gw'ensiri gufuuka kawumpuli ssinga gukwata abantu abangi ennyo okusukkuluma omuwendo gw'abo
  • 2:14 - 2:20
    abandisubiddwa okukwatibwa mu kiseera ekimu.
  • 2:20 - 2:26
    Endwadde endala ezisobola kufuuka kawumpuli mulimu ezo ezikwatira mukwegatta gamba nga mukenenya,
  • 2:26 - 2:36
    kabotongo, n'enziku era n'ezo ez'engeri endala nga kawumpuli ava ku mmese, endwadde z'olususu n'ezo eziva kubutwa obuva mu biragalalagala
  • 2:36 - 2:43
    gamba nga omwenge ogusogoddwa mu ngeri ey'ekimpatiira, kino nno nga kifuuse kimu ku bizibu by'eby'obulamu mu
  • 2:43 - 2:45
    Africa ey'ebuvanjuba.
  • 2:45 - 2:50
    Ka tunokoleyo eky'okulabirako ekisooka.
  • 2:50 - 2:57
    Soma ekiwandiiko ekiri ku katambi akakuwereddwa
  • 2:57 - 3:03
    Ekibuuzo: Ekyo kyosomyeko kiyinza okubaawo mu disiturikiti yo? Era nga kibaddewo,
  • 3:03 - 3:08
    abakulembeze ba disiturikiti bategeera batya nti waliwo nnawookeera?
  • 3:08 - 3:14
    Okumanya nnawookeera tulina kubagulizibwako.
  • 3:14 - 3:20
    Tufuna amawulire agakwata ku nnawoookeera okuva mu bantu abawansi era
  • 3:20 - 3:23
    n'okuva ku alipoota ez'abalwadde abagenda mu malwaliro, oba ezo eziva mu bakulembeze abasookerwako.
  • 3:23 - 3:32
    Nolwekyo tulina okubeera n'enteekateeka mwetuyinza okuyita okumanya amangu, eri ddala wansi mu bantu.
  • 3:32 - 3:40
    Etteeka ekkulu mu kumanya nnawookeera lili nti buli lugambo lwonna lulina okunoonyerezebwako.
  • 3:40 - 3:46
    Ngatunoonyereza ku nnawookeera tulina okufuna okunnyonnyolwa ebikwata ku bulwadde
  • 3:46 - 3:52
    naddala okuva ku basawo ababa babujjanjaba. Olwo nno n'abantu ne balyoka batuusibwako amawulire gano
  • 3:52 - 3:53
    agakwata ku bulwadde nga bwe buba bulabise.
  • 3:53 - 4:01
    Ekyokubiri ekikakasa nti ddala nnawookeera, walina okubaawo okulinnya mu muwendo gw'abo abakwatibwa okussukkuluma
  • 4:01 - 4:05
    ku kisuubirwa.
  • 4:05 - 4:13
    Bikkula ekiwandiiko ekikuwereddwa kubbali era olabe okunnyonnyola okwenjawulo
  • 4:13 - 4:16
    okukolebwa ku ndwadde ezimanyiddwa ba kagezi munnyo
  • 4:16 - 4:26
    gamba nga poliyo, olunkusense, kolera,ebola ne
  • 4:26 - 4:28
    mulalama.
  • 4:28 - 4:34
    Engeri obulwadde gye bu nnyonnyolwamu oba gye butuumibwamu eyinza okukyuuka okusinziira ku kitundu mwebuli oba obubonero
  • 4:34 - 4:39
    mwe bweyolekera nga nnawookera abaluseewo.
  • 4:39 - 4:46
    Ekitongole kwa disiturikiti ekiddukirize (District Rapid Reaction Team) kisobola okugunja wo erinnya oba enyinyonnyola y'obulwadde singa waba tewali nyinyonnyola nkukuutivu,
  • 4:46 - 4:53
    nga basinziira ku ngeri gye bweyolekamu era n'obuzibu obuva ku
  • 4:53 - 4:56
    mbeera eyo mwe bweyolekera.
  • 4:56 - 5:00
    Ggwe oyinza okugezaako okuwa enyinnyonnyola yo ku ndwadde zino wammanga?
  • 5:00 - 5:05
    Edwadde eva ku kunywa omwenge ebaluseewo era n'etta abantu mu kitundu ekimu (X)
  • 5:05 - 5:16
    2. Ekiddukano Ky'omusaayi kibaluseewo mu kibinja Y
    3. Edwadde eva ku mmere ebaluseewo
  • 5:16 - 5:21
    era n'evaako abantu okufa mu kyalo Z
  • 5:21 - 5:27
    Edwadde eziyinza okuvaamu nnawookeera zisobola okubeera mu kitundu ekimu naye nga tezinnafuuka nnawookeera.
  • 5:27 - 5:33
    Eky'okulabirako gwe musujja gw'ensiri, ogumaamidde ebitundu binji mu Africa ey'ebuvanjuba.
  • 5:33 - 5:39
    Okulangirira nnawookeera omuwendo gw'abo abakwatibwa gulina okuba nga gulinnye nnyo okuyita ku ekyo ekisuubirwa.
  • 5:39 - 5:44
    mu kiseera ekigere.
  • 5:44 - 5:50
    Wabula endawadde ezimu ezivaako nnawookeera teziba zabulijjo mu bitundu mwe zizinda.
  • 5:50 - 5:54
    Era ku ndwadde nga ezo, omuntu omu olukwatibwa tugamba nti wabaluseewo nnawokeera
  • 5:54 - 5:58
    Eky'okulabirako, kye kirwadde nga Kolera.
  • 5:58 - 6:01
    Edwadde ezimu ezivaako nnawookeera tezitera kulabika wabulwa nga za kabenje nnyo bwe zirabika.
  • 6:01 - 6:06
    Mu mbeera eyo tetusobola kulinda kumaliriza kunoonyereza ku mulwadde oyo aba alabise
  • 6:06 - 6:10
    Wabula kasita tuteeberereza ku oyo nga tulangirira nnawookeera.
  • 6:10 - 6:13
    Eky'okulabirako bwe bulwadde bwa Ebola.
  • 6:13 - 6:18
    Nolwekyo engeri gye tupimamu amanyi ga nnawookeera esinziira ku ndwadde yennyini.
  • 6:18 - 6:21
    Okugeza Ku Kolera, bwe tukakasayo omulwadde omu bwati
  • 6:21 - 6:24
    ate ku Ebola kuteeberezayo omulwadde omu bwati olwo netulyoka tulangirira nnawookeera.
  • 6:24 - 6:31
    Okulangirila nnawookeera w'Olunkusense tusinziira ku balwadde abateeberezebwa batanu n'okugenda waggulu, oba basatu abakakasiddwa
  • 6:31 - 6:37
    mu kitundu ekyetolodde edwaaliro erimu, mu mwezi gumu.
  • 6:37 - 6:44
    Wabula ate ku musujja gw'ensiri, olw'okuba gumaamidde ebitundu bingi mu Africa ey'ebuvanjuba, nnawookeera alangirirwa
  • 6:44 - 6:53
    nga omuwendo gw'abo abakwatibwa gusukkulumye nnyo ku ogwo ogusuubirwa, mu kiseera ekigere.
  • 6:53 - 7:04
    Katutunuulire eky'okulabirako eky'okubiri ekiri mu kiwandiiko ekiri ku katambi.
  • 7:04 - 7:11
    Kale katwekennenye eky'okulabirako kino nga bwetukubaganya ebirowooozo ku bibuzo bino:
  • 7:11 - 7:17
    Olowooza disituritiki era n'ekitongole eky'eby'obulamu bagezaako okunoonyereza
  • 7:17 - 7:19
    ku bikwata ku nnawookeera ono?
  • 7:19 - 7:25
    Bwe tugamba nti 'obudduukirize obw'embagirawo' tuba tutegeezakyi?
  • 7:25 - 7:38
    EMITENDERA MU KUNONYEREZA KU NNAWOOKEERA
    1- Okuddukirira okusooka era n'okukakasa nnawookeera.
  • 7:38 - 7:45
    Kikulu nnyo okuyungula ekibinja era n'okukola enteekateeka ey'okulambula ekitundu ekyo ekurumbiddwa mu bwangu nga bwe kisoboka.
  • 7:45 - 7:51
    Eky'okubiri: Kikulu okubagawo erinnya oba engeri enyangu obulwadde obwo gye buyinza okunnyonnyolwamu, olwo nno netulyooka tukakasa abalwadde abo ababa balabise.
  • 7:51 - 7:54
    Eky'okusatu: Kisaana okubagawo engeri ennungamu ey'okuzuula mu abalwadde b'obulwadde obwo.
  • 7:54 - 8:01
    Eky'okuna: Kakasa nti waliwo nnawookeera nga ogerageranya okweyongera kw'owuwendo gw' abakwatibwa nabo abakwatibwa edda.
  • 8:01 - 8:07
    Oky'okutaano: nyonnyola ani akwatiddwa? Ddi era wa?
  • 8:07 - 8:14
    Omutendera ogw'okubiri:
  • 8:14 - 8:22
    Gunja wo akabinja aka disiturikiti ak'avunanyizibwa ku nnawookeera ono era ogabanye bulungi obuvunanyizibwa.
  • 8:22 - 8:30
    Weeyambise erinnya oba ebigambo ebinnyonnyola byewagunjizzaawo okuzuula abakwatiddwa era otekewo ekifo awajjanjabirwa obulwadde buno.
  • 8:30 - 8:35
    Omutendera ogw'okusatu: gunjawo enkola eziyinza okuziyiza obulwadde buno okusaasaana.
  • 8:35 - 8:38
    Jjanjaba abakwatiddwa osobole okukendeeza ku kusaasaana era n'okufa.
  • 8:38 - 8:45
    Lowooza nnyo ku kugema, okuyonja ebifo omuli obuwuka era n'ebyambalo ebiyinza okukendeeza ku kusaasaana.
  • 8:45 - 8:48
    Somesa abo bonna abalina emikisa emingi egy'okukwatibwa obulwadde obwo.
  • 8:48 - 8:53
    Wegendereze nga oyogera ku bulwadde obwo okwewala okutiisa ennyo abantu wabula oyambe mu kuziyiza okusaasaana.
  • 8:53 - 8:57
    Omutendera ogw'okuna: Kola kubwetaavu bwonna obuyinza okubaawo mu bakozi oba mu bikozesebwa.
  • 8:57 - 9:02
    Eddagala, ebikozesebwa mu kujjanjaba era ne byonna ebiyamba okutumbula obujjanjabi.
  • 9:02 - 9:07
    Noonya abajjanjabi n'ebikozesebwa okuva ebweru w'ekitongole eky'eby'obulamu
  • 9:07 - 9:12
    gamba nga ebitongole eby'obwannakyewa singa ebikozesebwa biba tebimala.
  • 9:12 - 9:19
    Omutendera ogw'okutaano: Noonyereza biki ebivuddeko nnawookeera ono era okole alipoota.
  • 9:19 - 9:24
    Weekennenye ebimanyiddwa ku dwadde eno osobole okuzuula ebyo ebiyinza okuteeka abantu mu katyabaga k'okukwatibwa.
  • 9:24 - 9:29
    Kola alipoota era fuba okulaba nti amawulire agalimu gatuuka ku buli bantu abeetaaga okugafuna era n'abo ab'etaaga
  • 9:29 - 9:30
    okubaako kye bakola okuziyiza okusaasaana kw'endwadde eyo.
  • 9:30 - 9:48
    Mu alipoota muno olina okubaako ebirowoozo byowa ku kyiki ekiyinza okukolebwa amangu ddala mu kukkakkanya nnawookeera ono.
  • 9:42 - 9:49
    Yongera amanyi mu kulabiriza ebubonero obuyinza okulaga abakwatiddwa era oyigire okwo
  • 9:48 - 9:42
    Omutendera ogw'omukaaga: Beera bulindaala
  • 9:49 - 9:52
    engeri y'okudduukirira mu nnawookeera mu biseera eby'omumaaso.
  • 9:52 - 9:58
    Tekawo enkola eziziyiza nnawookeera ow'ekikula nga ekyo mu biseera eby'omumaaso.
  • 9:58 - 10:00
    Mwebale nnyo okuwuliriza.
Title:
EAHA DM 1.2a: Epidemics - Captions
Description:

This is a remix of 1.2a: Epidemics narrated by Roy William Mayega (Makerere University). This version includes English captions. The original video (without captions) can be found at http://www.youtube.com/watch?v=VHHGfll28RA. Video transcribed by Trisha Paul (University of Michigan). This video is part of a learning module from the East Africa HEALTH Alliance called Public Health Emergency Planning and Management for Districts. The full module and the video transcript can be accessed at http://openmi.ch/disaster-mgmt. Copyright 2009-2019 Roy Mayega (Makerere University). The video, transcript, and module are all shared under a Creative Commons Attribution (CC BY) 3.0 License: http://creativecommons.org/licenses/by/3.0/.

more » « less
Video Language:
English
Duration:
10:18

Ganda subtitles

Revisions